Amawulire

Okwekalakaasa e Makerere kuyingidde olunaku olwokubiri

Okwekalakaasa e Makerere kuyingidde olunaku olwokubiri

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Emirimu gisanyaladde ku ttendekero ekkulu mu gwanga, nate abayizi bwebatanudde okwekalakaasa mu lunnaku olwokubiri.

Abayizi e Makerere bawakanya enyongeza eyebitundu 15%, ku bisale, eyaysibwa olukiiko olwokunyikko olwa University Council, omwaka oguwedde.

Olwaleero okwekalakaasa kutandikidde ku Mitchel hall, nekubuna wonnna.

Wetwogerera ngabakuuma ddebe okuli abamagye, aba LDU ne poliisi bayiriddwa ku ttendekero ouokukakanya embeera.

Kati twogeddeko nabamu ku bayizi nebatubuliira nti bingi ebibanyigiriza ku ttendekero ngenkola yokukolera ebibuuzo ku yintaneti, etanalongooka, amagye ne poliisi okukwtaanga abayizi atenga abaddukukanya ettendekero basirise tewali kyebaogera.

Olunnakulwe ggulo abayizi abawala 17 bebakwatiddwa mu kwekalakaasa kuno, bwebabadde bagala okugenda ku wofiisi yomukulembeze w egwanga okwemulugunya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *