Amawulire

Okuwandiisa aba bodaboda

Ali Mivule

October 28th, 2013

No comments

bodabodas

Nga ebula ennaku 3 zokka nsalesale w’okuwandiisa abavuzi ba boda boda aggweeko, abagoba ba bodaboda beeyiye ku mawandiisizo ag’enjawulo , era nga balabiddwako nga bali mu nkalalala.

Ebimu ku bifo bino mwemuli ku City Hall, Makindye, Kawempe, Lubaga, Nakawa neku kitebe kya division ya Kampala.

Gyebuvuddeko ab’ekitongole kya KCCA bategezezza nga bwebatajja kwongezaayo nsalesale w’okuwandiisa boda boda zino owa nga 31 omwezi guno .

Omwogezi wa  KCCA Peter Kaujju, atugambye nti oluvanyuma lw’okuwandiisa aba boda bano bakubawa ebikofiira by’okumutwe ,obujaketi byonna nga kuliko ennamba zaabwe .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *