Amawulire

Okusomesa Oluganda mu nnyimba

Okusomesa Oluganda mu nnyimba

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulira ekibiina kyolimi oluganda basse omukago nabakulembeze babayimbi, okwongera amaanyi mu kusomesa olulimi Oluganda.

Bano bategese empaka zabayimbi abatto nga zigenda kutongozebwa omwezi ogujja.

Okusinziira ku ssentebbe wekibiina kyoluganda mu Uganda, Lukabwe Fred Kisirikko, abayizimbi bawereddwa omulamwa, okuyimba ku nkuza yabaana namaka, wabulanga baoolesa oluganda mu butuufu bwalwo, mu nnyimba ne katemba.

Kati agambye nti okuwandiisa kugenda mu maaso, nga byonna bigenderddwamu okutereeza Olulimi, ate nokwanukula omulanga gwa Ssabasajja, okusomesa Oluganda.