Amawulire

Okusabira Robert Mugabe kutandise

Okusabira Robert Mugabe kutandise

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze b’amawanga ag’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okweyiwa mu ggwanga lya Zimbabwe mu kibuga ekikulu Harare okwetaba ku mukolo ogw’okusabira omwoyo gw’omugenzi Robert Mugabe eyali omuk wegwanga elyo okumala emyaka 37 n’okujukira emirimu gyalese akoledde eggwanga

Mugabe yasa ogwenkomerero ng’ennaku z’omwezi 6 omwezi guno mu ggwanga elya Singapore gye yali afunira obujanjabi okuva mu mwezi gw’okuna.

Weyafiira nga awezeza emyaka 95.

Abakulembeze b’amawanga okuva ku lukalu lwa Africa ne mu mawanga amalala batuuse okusobola okuwerekera mukulu munaabwe mu nyumbaye ey’oluberera.

Ku batuuse kuliko omukulembeze w’eggwanga elya Kenya Uhuru Kenyata, owa congo Joseph Kabila , Kenneth Kaunda eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Zambia, Edgar lungu omukulembezewa Zambia aliko kati, Jacob zuma eyaliko omukulembeze wa south Africa, Ramafosa owa south Africa aliko n’abalala bangi.

Mugabe yadde mu bufuzi bwe yatuuka naava ku mulamwa ekyamuvirako okumamulwa mu ntebe mu mwaka gwa 2017, ajjukirwa nyo mu kulwanirira eby’engiriza bye ggwanga ne by’obulamu wamu n’okulwanirira obwetwaze bwa Zimbabwe.

wabula kikakasidwa nti Mugabe siwakuziikibwa wiikendi eno nga bwegasoose okufuluma, ono wakuziikibwa mu nnaku 30 okuva kati.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *