Amawulire

Okusaba kwa Kyagulanyi kulamulwako kawungeezi ka leero

Okusaba kwa Kyagulanyi kulamulwako kawungeezi ka leero

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2021

No comments

 

 

Bya Ruth Anderah,

Ssabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga asabye kkooti ensukulumu okugoba okusaba kwakulembera ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi, mwayagalira okuleeta obujjulizi obupya obukwata kukubba obululu era nga ayagala obuwanguzi bwa munnaNRM Museveni busazibwemu.

Byaruhanga agambye nti ekya Kyagulanyi okuleeta obujjulizi obupya nga abawawabirwa batekayo dda empaaba yaabwe tekikola

Wabula bwabuuziddwa oba Kyagulanyi mungeri yonna ayinza okuba nga yaziyizibwa obutakunganya bujjulizi bwe mu budde oluvanyuma lwokulonda, Byaruhanga yegaanye mu maaso ga kkooti nti Kyagulanyi tasibwangako ekimu ku kiyinza okumulobera okutegeka obujjulizi bwe

Kino kidiridde munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Ssegona, okutegeeza kkooti nti omuntuwe teyasobola kwetegeka kimala kuba yagalirwa mu makage ennaku 15 oluvanyuma lwokulonda

Wabula munnamateeka wa pulezidenti Museveni, Ebert Byenkya, bino abiwakanyiza bwategezeza nti bwaba nga Kyagulanyi yasibirwa mu makage bannamateekabe balitute obuvunanyizibwa okutegeka okubujjulizi bwebaali betaga

Abalamuzi 5 nga bakulembedwamu ssabalamuzi Alifonse Owiny Dollo,bakuwa ensalawo yaabwe akawungezi ka leero

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *