Amawulire

Okulonda kwa Arua kwa Leero

Okulonda kwa Arua kwa Leero

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Damalie Mukhaye

Abalonzi mu munisipaali ye Arua olwaleero lwebagenda okulonda, omubaka wekitundu kino anakiika mu palamenti.

Abantu 12 bebaalaga obwagazi okujjuza ekiffo kino, oluvanyuma lwokuttibwa kweyali omubaka Col Ibrahim Abiriga eyatemulwa mu June womwaka guno.

Okulonda wekujidde nga bunkenke bwenyini, oluvanyuma lwakanyolagano kabawagizi ne poliisi akabaddewo campaign bwezabadde zifundikirwa.

Wabula poliisi ekakaksizza obukuumi mu kulonda kwa leero, okukakasa nti kutambula bulungi.

Ate akakiiko kebyokulonda kasabye abatuuze okujja mu bungi okwetaba mu kulonda, kubanga ddembe lyabwe okusalalwo ani alina okubakulembera.

Okulonda kwatandika ku ssaawa 1, nga kwakukomekerzebwa ku ssaawa 10 akakwungeezi.

Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama ategezezza nti abalonzi tebagwana kubeera na kutya kwonna, kubanga ebyokwerinda binywezeddwa.

Ate omugoba womubaka we Kyandondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu ng ye Yasin Kawuma olwaleero agenda kuzikibwa ku bijja byabjaa be mu district ye Mpigi.

Omugenzi ngabadde aweza emyaka 40 yakubiddwa amasasi agamusse, mu bitundu bye Arua, mu kufundikira campaign, okulinaana pacific hotel.

Muganda womugenzi, Male Thabit ategezezza nti Kawuma yabadde alina kuzikibwa olunnaku lwe ggulo, kubanga musiraamu wabula nebakolamu enkyukakyuka mu ntekateeka, azikibwe leero e Buwama Ssanga mu Mpigi.

Bbo aba family yomugenzi basabye, omubaka Kyagulanyi okubayambako mu kulabirira abaana, balese abawera 11.

Mungeri yeemu bano basabye gavumenti okufaayo ku nkozesa ye mmundu mu bantu.

Male Thibat agamba nti abantu babulijjo tebalina mmundu, wabula ziri mu mikono gyabakuuma ddembe nabakungu mu gavumenti, nayenga abasing bazikozesa bukyamu.