Amawulire

Okulonda ku magombolola kuwedde wakati mu bisomooza

Okulonda ku magombolola kuwedde wakati mu bisomooza

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Barbara Nalweyiso,

Omubaka wa Kira Municipaali Ibrahim Ssemujju Nganda yenyamidde olwa kakiiko ke byokulonda okulemererwa okuba nobuuma obwa biometric machines obukola obulungi.

Ssemujju bino abyogedde yakamala okusula akalulu ke enkya ya leero mu kulonda ba ssentebe ba magombolola ne bakansala, nategeeza nti nolunaku lwa leero obuum buno buganye okukola ate obumu tebabukyaginze, ekiraga nti tewabadewo kwetekeratekera akalulu kano.

Ate yo mu disitulikiti ye Mityana bavudeyo ne bemulugunya kungeri akakiiko kebyokulonda gyekategeseemu obukonge bwa bakansala abagenda okukiika  kumagombolola.

Bano bagamba nti batuuse okulonda abantu babwe nga tebalabako bufananyi bwabwe yadde akabonero kebajirako okwesimbawo nga kino kya kubuzabuza abantu bangi nadala abatamanyi kusoma.

Mityana erina amagombolola 10 town councils 4 ne divisions 3 nga zona zakufunibwa ba sentebe baazo n’ebakansala olunaku olwaleero era nga basinga kubesimbyewo bamaze okukuba obululu bwabwe.

Avuganya kukifo kya Central Division nga ali ku ticket ya DP munamawulire Bashir Ssemuyaba yemulugunyiza olwa balonzi obutajjumbira kulonda kwa leero