Amawulire

Okulonda bakansala e Nabingola kusazidwamu

Okulonda bakansala e Nabingola kusazidwamu

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda

Bya Magembe Sabiiti,

Akulira akakiiko ke byokulonda mu district ye Mubende Kunihira Christine asazizaamu okulonda mu gombolola ye Nabingola oluvanyuma lw’okukizula nga omu kubabadde besimbyewo ku bwa ssentebe we gombolola eno Kwizera Sam tajidde kakonge akalonderwako.

Abantu basatu (3) bebavuganya ku kifo kino okuli Kigangali David Ssemanza owa NRM ,Batungwa Innocent owa FDC ne Kwizera Sam atalina kibiina ng’ono yatajidde kakonge ekivirideko akalulu Kano okusazibwamu.

Kwizera Samu atubulidde nga bwakozesezza ensimbi nyingi okunonya akalulu nga ne ba agent abadde amaze okubasasula nga wano anenyezza akakiiko ke byokulonda obutakola mirimu gyako mu bulambulukufu.

Akulira okulonda Kunihira Christine atubulidde nti akakiiko kakutegeka olunaku olulala olunalonderwako mu kitundu kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *