Amawulire

Okujjukira Ekitta bantu e Rwanda kutandise

Okujjukira Ekitta bantu e Rwanda kutandise

Ivan Ssenabulya

April 7th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ku mulirwano mu gwanga lya Rwanda batandisae ebikujjuko ebyomulundi ogwa 27, okujjukira ennaku 100 ezekitta abantu ekyali mu gwanga lino.

Ebikkujjuko bino biberamu owefumintiriza ku byaliwo okuva nga 7 April ne 15 July mu mwaka gw 1994, bwebagwamu olutalo olwomunda, olwenjawukana mu mawanga.

Abantu abali mu kakadde kalamba, ngokusinga ba Tusti naba Hutu abatonotono, bebatibwa mu nnaku 100 obubinja bwabalwanyi, obwalina enkolagana ne gavumenti yaba Hutu, eyali efuga.

Kati mu bubaka obuvudde ewa Ssabawandiisi wekibiina kyamawanga amagatte, Antonio Guteress akubidde namawanga amalala omulanga, okubaako kyebayiga ku byali mu gwanga lino

Guteress agambye nti kikulu nnyo okujjukira abaafa ate nokuyozayoza abo abasimattuka.

Watondebwawo akakiiko akatabaganya, aka National Unity and Reconciliation Commission nga bazze babunyisa engiri yokusonyiwagana nokwegatta, okukolera awamu okutwala egwanga mu maaso.

Ssentebbe owakakiiko kano Fidèle Ndayisaba, yye agambye nti busaanye bubeera buvunanyizbwa bwa buli muntu, okukakasa nti ekitta bantu tekiddmu okuberawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *