Amawulire

Okubumbulukuka kwe ttaka kuzeemu e Buduuda

Okubumbulukuka kwe ttaka kuzeemu e Buduuda

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa, Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya

Wofiisi ya ssabaminista esindise ekibinja okweknnenya embeera abantu gyebalimu mu district ye Bududa, okuyigukuluka kwe ttaka gyekuzeemu.

Abantu abali mu 6 kisubirwa okuba nga bebafiridde mu njega eno, nate egudde mu gombolola ye Bukalasi mu district ye Bududa.

Abantu mu maka agsoba mu 150, kigmbibwa nti bebaoseddwa.

Kino kivudde ku namutikwa wenkuba, aviriddeko nomugga Tsume okubooga amazzi negatwala amayumba gabantu, nebisolo byabwe saako n’ebirime.

Wabula kisubirwa nti omuwendo gwabafudde gwandyeyongerako, kubanga abamu tebalabikako.

Owemyamawulire mu wofiisi ya ssbaminista Julius Mucunguzi agambye nti bano, bagenda kwekenneya embeera, na butya bwebagenda okubadukirira.

Kati nabadukirize aba Uganda Red Cross bayungudde, abantu baabwe okugenda okuyamba abantu.

Irene Nakasiita yayogerera ekitogole kino.

Yye omubaka we Manjiya John Baptist Namabashe atubulidde nti enjega eno yatandise mu budde obwekiro, nga kati abantu babundabunda.

Agambye nti abasing bakunganidde ku masomero mu kitundu kye Malandu ne Bubita.

Kinajjukirwa nti eno wadde wabaayo okuyigukuluka kwe ttaka, ngomwaka oguwedde abantu absoba mu 50 bebafa.

Omwezi oguwedde gavumenti yatandika ku ntekateeka eyokusengula abantu bano,okubatwala e Bunambutye mu district ye Bulambuli.