Amawulire

Okubba piki- asibiddwa emyaka 18

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Bodaboda thieves

Kooti  enkulu eriko omusajja owe myaka 30  gw’ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda.

Godwin Kanyaanya  owe Namuwongo  alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya  Simon Kalaharo.

Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng’ennaku z’omwezi 15 , omwezi gw’okubiri mu mwak aoguwedde nga piki eno nno yagikukunula mu kifo weyali esimbiddwa e Kabalagala

Wano omulamuzi w’asinzidde n’agamba nti obunyazi bwa pikipki buyitiridde ensangi zino , kale nga ono yeetaga afuuke eky’okulabirako.