Amawulire

Ogwokulya mu nsi olukwe gwamu March

Ogwokulya mu nsi olukwe gwamu March

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2019

No comments

Bya Ben Jumbe

Omusango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa abantu 33 okuli n’ababaka ba palamentI, gwogezeddwayo okutukira ddala nga 14th March 2019.

Bano leero okubadde ababaka okuli owa Kyadondo East Robert Kyagulanyi, Kassiano Wadri, owa munispaali ye Arua, owa munisopaali ye Ntungamo Gerald Karuhanga ne Paul Mwiru owa Jinja East nabalala balabiseeeko mu kooti mu maaso gomulamuzi we daala erisooka e Gulu Isaac Imram Kintu.

Omulamuzi okusalawo bwati kidiridde omuwabi wa gavumenti okumutegeeza nti okunonyereza kukyagenda mu maaso, nga bakyetaaga obudde.

Wabula ye omulamuzi agambye nti kwolwo  abanonyereza ku buzi bwemisango e Gulu ne Arua balina okujja banyonyole lwaki bakyalemedde ebintu byabakwate okuli amasimu ne mmotoka yomubaka Kyagulanyi.

Oludda oluwaabi lugamba nti abavunanwa nga 13 August mu kunoonya akalulu mu Arua baakuba emmotoka y’omukulembeze we gwanga amayinja ekikolwa ekyenkanankana n’okulya munsi olukwe.