Amawulire

Obwakabaka bukungubagidde Hajji Kaddu Serunkuuma

Obwakabaka bukungubagidde Hajji Kaddu Serunkuuma

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukubirizi wolukiiko lwa Buganda Hajji Kaddu Serunkuuma, mukama gweyajuludde.

Omumyuka wa Kattikiro wa Buganda asooka Owek. Hajji Twaha Kawaase Kigongo, yalangiridde okufa kwa Hajji Sserunkuuma.

Kati ategezezza nga bwewantondedwawo akakiiko akagenda okukubirizibwa sipiika Owek. Patrick Mugumbule, okukola ku ntekateeka z’okuziika.

Omugenzi Kaddu Sserunkuuma yalondebwa okukubiriza olukiiko mu mwaka gwa 2008, okudda mu bigere byomugenzi Hajji Sulaiman Lubega Kaddunabbi.

Mu ntekateeka endala Owek. Kawaase agambye nti wategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku muizkiti e Kibuli ngoluvanyuma omugenzi agenda kuzikibwa e Butambala Nsoozi bbiri.

Omugenzi yazalibwa mu 1936 nga yafudde kirwadde kya kokolo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *