Amawulire

Obubaka ku lunnaku lwabakyala

Obubaka ku lunnaku lwabakyala

Ivan Ssenabulya

March 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Juliet Nalwooga

Olwaleero Uganda egenda kwegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lwabakyala mu nsi yonna, olwa Women’s Day.

Wabula lujidde mu kiseera ekya senyiga omukambwe, ngabakyala bangi emirmu gyabwe gyasanyalala, olwa nabe wekirwadde kino eyaleeta n’omuggalo.

Wano mu Uganda, emikolo gye gwanga emitongole gigenda kubeera mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, nga gyakwetabwako omukulembeze w egwanga Yoweri Museveni.

Kati givugidde ku mubala, okuzimbira ku busobozi bwabakyala, kulwebiseera ebyomu maaso mu nsi eya ssenyiga omukambwe.

Minisita owamawulire aera avunayizbwa ku kulungamya egwanga Judith Nabakooba olunnaku lwe ggulo yasiimye emirmu amakula egikoleddwa abakyala, nga yagambye nti basigala nga bakola mu bugubi okubezaawo amaka gaabwe, nokuzimba egwanga

Mungeri yeemu akulira ekitongole kya UNAIDS Winnie Byanyima akubye omulanga okwongera okuwagira abakyala.

Byanyima agambye nti abakyala abali mu bifo byobukulembeze bakutte omumuli, kalenga amaanyi getaaga nokuteeka ku mirandira eri abakyala aba wansi.

Agambye nti abakyala abali mu bifo byobukulembeze balaze ensi, obukulu bwokubeera nabakyala mu bifo ebisalawo, ngobubaka bwe abwesigamizza ku nabe wa senyiga omukambwe COVID-19.

Ate amyuka ssabapoliisi we gwanga Maj Gen Paul Lokech akubirizza abakyala, okujubira okwegatta ku poliisi.

Buno bwebubaka bwe, olwaleero ngegwanga lyegasse ku nsi okukuza olunnaku lwabkyala.

Lokech agambye nti benyumiriza mu bukulembeze nemirmu gyabwe, egyokukuuma obutebenkevu nokukwasisa amateeka.

Kati agambye nti kinabakola bulungi abakazi okwongera okwegatta ku poliisi.