Amawulire

Obubaka bwa Sande y’amatabi

Obubaka bwa Sande y’amatabi

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Sadat Mbogo

Abakristu basabiddwa okusaba Katonda abawe ekisa kye, nga tuyingira mu wiiki entukuvu.

Bwabadde akulembeddemu misa yamatabi ku kkerziya ya Christ the King church mu Kampala, Rev. Fr. Remigius Sserugga era azizaamu abakristu amaanti, okusigala nga betowaze eri Katonda mu kiseera kino.

Fr Sserugga agambye nti tusaanye okutwala ekyokurabirako kya Yezu, nobwetowaze bweyalina nga yakirza nokusiiba ennaku amakumi 40 okusobola okutunuliira Katonda.

Mungeri yeemu, abakulisito basabiddwa okukola ennyo emirimu ejivaamu ensimbi, kibasobozese okuyimirizaawo amaka gaabwe nokwejja mu bwavu.

Buno bwebubadde obubaka bwa Rev. Fr. Denis Jjemba Bwana-Mukulu w’ekigo ky’omutukuvu Francis e Kitakyusa mu gombolola y’e Kituntu mu district y’e Mpigi.

Agambye nti kijja kubasobozesa nokuyambako bannaabwe abali mu bwetavaavu, nayenga tebesobola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *