Amawulire

NUP basanyukidde envumbo za EU ku bakungu ba Uganda

NUP basanyukidde envumbo za EU ku bakungu ba Uganda

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abvuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform banirizza ekkoligo lyomukago gwa Bulaaya, eryatekeddwa ku banmu ku bakungu mu gavumenti ya kuno olwokutyoboola eddembe lyobuntu naddala mu biseera byokulonda.

Ababaka mu palamenti ya EU okulonda okwakaggwa bakwogeddeko ngokutali kwa democrasiya era bagamba nti tekwalimu bwerufu, nebabanja nti gavumenti eyimbule nabantu bonna abazze bakwatibwa obwemage, ouva mu biseer byokulonda.

Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agambye nti kirungi ensi yonna amaaso bagegese Uganda, kubanga ssi nsi eri ku kazinga kubwayo naye ku kitundu ku mawanaga amalala gonna era abali mu buyinza basaanye okulya kamanye ngakozza nowe bbwa.

Envumbo zino okuva mu mukago gwa Bulaaya, zigoberedde egwanga lya Americ, zebateeka edda ku bamu ku bakungu bebyokwerinda mu Uganda.