Amawulire

Nigeria ettaddewo ekirabo eri abamanyi abawala gyebali

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Nigeria tears

Poliisi mu ggwanga lya Nigeria etaddewo emitwaalo gya doola emitwaalo 30 eri omuntu anabatuusa awali abawala b’essomero abawambibwa.

Abawala bano abasoba mu 200 bawambibwa ssabiiti ssatu emabega okuva ku ssomero ly’ekisulo erisangibwa mu kibuga Borno.

Abawala abalala 11 bawambiddwa okuva ku byaalo 2 ebyalumbiddwa abagambibwa okuba ab’akabinja ka Bokoharam

Abakwata mmundu era baalumbye ekibuga ekiri ku nsala wa Nigeria ne Cameroon nebatta abantu 300

Aba Boko Haram beewana dda okuwamaba abawala bano era nga babatunda asinga ssnete y’atwaala