Amawulire

Nannyini mwanyi bamusanze abba gweyapangisa

Nannyini mwanyi bamusanze abba gweyapangisa

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Omusajja mu district ye Sembabule afiriddwa omusiri gwe ogwe mwanyi yiika 5, olwobubbi.

Abel Mugisha nga mutuuze ku kyalo Gayaza mu gombolola ye Mijwala e Sembabule bamukutte lubona ne kiro ze mwanyi 25 ezigambibwa okubeera enzibe.

Kigambibwa nti ono yali yaangisa omusiri gwe guno eri Paul Zzedde, naye omutuuze ku kyalo kino okumala emyaka 3 ku kakadde 1 nekitundu.

Wabula kigfambibwa nti ate yazze mu musiri gweyapngisa Zzedde nabbamu emwanyi, kalenga kwabadde kumenya ndagaano.

Kati ssentebbe we kyalo kino Ponsiano Muhangi, atabaganyizza ababairi bano era nekikanyizbwako nti Mugisha ayongera Zzedde emyaka emirala 7 nganoka mu musiri gwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *