Amawulire

Nambooze akoze statement nebamuyimbula

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

File Photo: Nambooze nga yogeera

Omubaka owa munisipaali ye Mukono mu Palamenti Betty Nambooze akawungeezi kano akoze statement ku poliisi ye Naggalama mu district ye Mukono oluvanyuma nebauyimbula.

Nambooze yakedde kukwatibwa okuva mu maka ge nebamutwala ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala, noluvanyuma ate nebamuzza e Mukono, nga byekuusa ku byeyawandiiko ku facebook ngomubaka owa munsipaali eye Arua Ibrahim Abiriga tanattibwa.

Okusinziira ku munamatyeeka womubaka Nambooze, Erias Lukwago poliisi yakugenda mu maaso okunonyereza ku misango gyokunyiiza, omubaka gyeyazza wabulanga agamba nakati tebalaze ani gweyanyiiza.

Kati omubaka kitegezeddwa nti wakuddamu okweyanjula ku poliisi nga 19 omwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *