Amawulire

Nabbi akubye omukazi namutta bwabadde asamusabira

Nabbi akubye omukazi namutta bwabadde asamusabira

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Poliisi mu disitulikiti ye Omoro, baliko Nabbi omukazi gwekutte nga kigambibwa aliko omugoberezi we, gweyakubye namutta bweyabadde amusabira okusumululwa.

Omukwate ye Nabbi Betty Acaa ngabadde akulembera ekanisa esangibwa ku kyalo Aremo mu disitulikiti ye Omoro.

Omugenzi ye Poly Grace Akullu, nga bamutegezezza nga bwalimu emizmu nekikwa wabula nabbi yamukakanyeko namukuba kibooko okujigoba.

Okusinziira ku Walter Okecha, ssentebbe we’kyalo Aremo omukazi ono yafudde oluvanyuma lwebisango ebyamaanyi byeyafunye ku mubiri.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Aswa, David Ongom omulambo gukyagenda mu maaso nokwekebejebwa ngokunonyereza kutandise.

Omukwate bamugalidde ku poliisi ye Bobi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *