Amawulire

Nabagereka ku nkuza y’abaana

Ali Mivule

December 19th, 2013

No comments

Nabagereka and children

Maama wa Buganda sylivia Naginda agambye nti enkulakulana eya namaddala teyinza kutuukibwaako awatali bakulembeze babuvunanyizibwa nga ate bakola nga eky’okulabirako ekirungi eri abalala.

Bino Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda  abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda ttabamiruka olw’omulundi ogw’omukaaga olugenda mu maaso.

Nabagereka tegezezza nga abakulembeze bwebati bwebasobola okuteekebwateekebwa okuyita mu nnono nga  kino tekiri eri bakulembeze bannabyabufuzi bokka wabula abakulembeze ku mitendera gyonna

Nabagereka agambye nti eno y’ensonag eyatandisaawo ekisaakate ekyakatendeka abayizi abasoba mu 1000.

Ttabamiruka ono aggalwaawo olunaku lwaleero ng’atambulidde ku mulamwa ogw’okutumbula enkulakaala mu myaka 20 egijja n’engeri y’okukikolamu.