Amawulire

Muve ewa Besigye ne Lukwago- Kadaga

Ali Mivule

December 3rd, 2013

No comments

Kadaga

Sipiika omukyala Rebecca Kadaga alagidde abasirikale ba poliisi okwamuka amaka ga Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago

Kadaga agambye nti kikyaamu okugumba mu maka g’omuntu kubanga kirinyirira eddembe ly’omuntu.

Ekiragiro kya Kadaga kiddiridde okwemulugunya okuva eri ababaka ba palamenti abatali bamu nga bakulembeddwaamu akulira abavuganya Nandala Mafaabi

YYe ssabaminista w’eggwanga Amama Mbabazi asuubizza okunonyereza ku nsonga eno.

Kati ssabiiti namba ng’abasirikale bagumbye ku maka ga Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago.