Amawulire

Mutebile ne Ochola bagenda kubongera ekisanja

Mutebile ne Ochola bagenda kubongera ekisanja

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akakiiko ka palamenti akakasa abantu abalondeddwa omukiulembeze we gwanga ku bifo, aka Parliament’s Appointments Committee nga kakubirizibwa ssentebbe waako Rebecca Kadaga, olwaleero kagenda kutuula okukakasa gavana wa Bank ye gwanga enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ku kisanja ekiralala.

Abalala abagenda okweyanjula eri akakiiko ye ssabapoliisi, Martin Okoth Ochola nga naye yazeemu nalondebwa.

Mutebile yalondeddwa okusigala mu kifo kino, ku kisanja ekyokutaano emyaka emirala 5.

Ku myaka 71, Mutebile yakyasinze okuwangaala mu kifo kino, okuva mu mwaka gwa 2001.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *