Amawulire

Museveni w’akutuula ne bannadiini ne Lokodo ku tteeka

Museveni w’akutuula ne bannadiini ne Lokodo ku tteeka

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze wa kuno Yoweri Museveni assuubiza okutuula ne minisita omubeezi akwasissa empisa wamu n’abakulembeze b’enzikkirizza ez’enjawulo ku tteeka empya kuddiini n’enzikkiriiza.

Kino kiddiridde abasumba eb’enjawulo nga bakulembedwamu omusumba wa balokole Robert Kayanja owa miracle center cathedral bwe basabye Museveni okutunula mu bbago lino lye bagamba nti ligenderedwamu ku banyiiza.

Museveni ategezezza nga bwekyetagiisa okusisinkana nga awadde eky’okulabirako ekya simon peter eyali omuvubi mu bayibuli Yesu gweyayita okumuwereza songa teyalina bisanyizo mu byenjiri

Mu bbago lino abasumba bonna balina okufuna ebbaluwa zobuyigirize mu ssomo lya siyologye okuva mu mattendekere agamanyikidwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *