Amawulire

Museveni ayimirizza kampeyini za Sipiika

Museveni ayimirizza kampeyini za Sipiika

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Thembo Kahungu

Omukulembeze we gwanga, nga yessentebbe wekibiina kya NRM Yoweri K. Museveni ayimirizza kampeyini ku kifo kya sipiika wa palamenti emppya eyomulundi ogwe 11.

Okulonda kwakuberawo mu lutuula olunasooka, nga 20 mu May w’omwaka guno 2021.

Museveni okulagira asinzidde mu lukiiko olwetabddwamu abakulembeze bekibiina, olwatudde mu maka gobwa pulezidenti ku Bbalaza.

Olukiiko luno lwetabiddwamu sipiika Rebecca Kadaga nomumyuka we Jacob Oulanya bwebali ku mbiranye mu kuvuganya kuno.

Kino kyadirirdde okwerumaruma okweyongedde mu kibiina, wakati mu kuwenja akalulu okugenda mu maaso.

Gyebuvuddeko Kadaga yalumiriza nampala wa gavumenti Ruth Nakanbirwa okuleeta ebya CEC mu palamenti.

Amawulire agomunda galaga nti Museveni yalabudde abakira olukiiko olwa Central executive Committee, okuluteeka mu byobufuzi ebyengeri ngeno, nga yalabudde nti CEC era seobola nokulonda abantu abalala abatali bano.

Yye Kadaga mu kwewozaako, yalaumirizza Oulanya okutandika okumenya amateeka wakati mu kakuyega abalonzi.

Wabula akalulu ka sipiika, ka kyama.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *