Amawulire

Museveni alayidde omulundi ogw’omukaaga

Museveni alayidde omulundi ogw’omukaaga

Ivan Ssenabulya

May 12th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni, akubye ebirayiro omulundi ogwomukaaga okukulembera Uganda.

Museveni, yasimbudde mu maka gobwa pulezidenti e Nakasero, wakati mu bukuumi noluseregende lwemmotoka naypokerera e Kololo.

E Kololo, ayaniriziddwa omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi, Ssabaminista we’ggwanga Dr Ruhakana Rugunda nabakungu abalala mu Gavumenti.

Ssabalamuzi we’gwanga Alfonso Owinyi Dollo, yakulembeddemu omukolo gwomukumulayiza ngoluvanyuma akwasiddwa obubonero obuyinza.

Kino kyekisanja, kyagenda okukulembera okuweza emyaka amakumi 40.

Bbo abakulembeze bamawanga 11 bebetabye ku mukolo guno.

Gavumenti yategezezza nga bweyise abakulembeze bamawanga abali mu 40, songa awamu abantu 4000 bebetabye ku mukolo e Kololo.

Gavumenti era yategezezza nga bweyakozesezza, obuwumbi 7 okugeteka emikolo gyokulayira

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *