Amawulire

Museveni alayidde okufafagana n’abonoona eby’obulambuzi

Museveni alayidde okufafagana n’abonoona eby’obulambuzi

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alayidde okufafagana nabamenyi bamateeka, abagala okusuula ekisaawe kyebyobulambuzi.

Kino kidiridde okuyimbulwa kwa munansi wa America, omulamuzi Kimberly Sue ne munna-Uganda Jean Paul abaali bawambiddwa, mu kkumiro lyebislo erya Queen Elizabeth National Park.

Okuyita ku mukutu gwe ogwa tweeter Museveni, akaksizza nti egwanga liebenkedde, eranga tewali muntu yenna ajja okulitataganya.

Abantu bano baanunuddwa oluvanyuma lwekikwekweto ekyagatiddwa awamau, poliisi namagye aga Special Forces commander agadumirwa Maj Gen Don Nabbasa.

Wabula egimu ku mikutu gyamwulire gitegezezza, nga bwebayimbuddwa oluvanyuma lwokusasula omusingo abaawamba gwebasaba ogwakawumbi 1 nobukadde 800.

Okusinziira ku mwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, omu-America bagenda kumuwaayo eri ekitebbe kya America mu Uganda.

Mungeri yeemu ekitongole kya Uganda Tourism Board has kitedenderezza, abakuuma ddembe olwokununula abantu bano, ababadde bawambiddwa.

Bwabadde ayogerako naffe akulira ekitongole kino Lilly Ajarova agambye nti kino kiwe, buli muntu essuubi nti abakuuma debe balina obusobozi okubakuuma.