Amawulire

Museveni alayidde okufafagana n’abalwanyisa entekateeka za gavumenti

Museveni alayidde okufafagana n’abalwanyisa entekateeka za gavumenti

Ivan Ssenabulya

April 29th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni alayidde okufafagana nomuntu yenna anagezaako okugotaanya entekateeka za gavumenti.

Okwogera bino abadde aggalawo olusirika lwababaka bekibiina abappya, e Ngoma mu disitulikiti ye Nakaseke ngagambye nti ababaka abamu bamufukira akakyinja mu ngatto, okuwakanya entekateeka za gavumenti.

Anokoddeyo entekateeka yokulwanyisa enkwa n polojekiti yokulima amatooke eye Nyaruzinga ngagambye nti zetaaga ssente zigende mu maaso, naye ababaka bazisimbira ekkuuli.

Museveni agambye nti tajja kwegayirira naye waakukozesa obuyinza bwe okukola byatekeddwa okukola.

Mungeri yeemu, Museveni atenderezza ababaka abakalondebwa abekibiina kya NRM bagenda okukiika mu palamenti empya ey’omulundi ogwe 11, olwkweyama okuwagira enkola ya Bonna basome.

Kino kidiridde okuba nti ebimu ku bitukiddwako mu lusirika lw’ekibiina kwekuwagira gavumenti, okusoma ddala kubeere kwa bwerere.

Mu kuggulawo olusirika luno Museveni yatuusa okwemulugunya kwe eri ababaka era nabasaba bamuwagire, okukakasa nti okusoma kubeera kwa bwerere.