Amawulire

Museveni alagidde poliisi okudamu okweyambisa Leediyo Koolo

Museveni alagidde poliisi okudamu okweyambisa Leediyo Koolo

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga YK Museveni alagidde abasirikale ba poliisi okukomya mbagirawo okukozesa amasimu gaabwe agómungalo nga bali ku mirimu badamu okukozesa ebisimu byémirimu ebyabaweebwa ebya radio call.

Kino kidiridde obutemu obwakoledwa ku Gen Katumba Wamala obwavirideko okufa kwa muwalawe ne derevawe.

Bino abyogedde ayogerako eri eggwanga mu kwogerakwe okusoose mu butongole ngomukulembeze weggwanga omugya.

Museveni agambye nti okweyambisa bileediypo bino kwakwanguyiza abasirikale okuwuliziganya nókutuuka amangu awagudde obuzibu.

Mungeri yemu anenyeza poliisi olwokulemerwa okweyambisa kamera zókunguudo okutemyako abasirikale abali okumpi nawaba wagudde obuzibu.

Abaali ku kamera obutemu ku katumba bumale bubeewo ne batalabula banabwe agambye bakukangavulwa.

Ono era alagidde ku buli poliisi station okuteekawo emmeeza ekola ku kwenganga ebikolwa ebyobutujju.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *