Amawulire

Museveni alabudde abakuuma ddembe

Museveni alabudde abakuuma ddembe

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni ayisizza ebiragiro eri abasirikale ba poliisi, bye balina okugoberera nga bakola emirmu gyabwe naddala mu kukakanya obujagalalo.

Abakuutidde nti batekeddwa okujjukira nobukugu obubasomesebwa mu kutendekebwa.

Bwabadde asisinkanye abasirikale ba poliisi mu maka gobwa pulezidenti Entebbe amakya ga leero, omukulembeze weggwanga nga ye muddumizi webitongole ebikuuma ddembe ow’okuntikko, abafalasidde okweyisa obulungi.

Bino webijidde nga waliwo abajaasi 7 wansi wa military police abavunanibwa ne basingisibwa era ne baweebwa ne bibonerezo olw’okukuba banamawulire ne babatusaako obuvune.

Bino byaliwo bwebali bakwata amawulire gakulembezera ekibiina kya,National Unity Platform leader Robert Kyagulanyi bweyali agenze ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu e Kololo, okuloopa ekiwamba bantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *