Amawulire

Museveni agenda kudayo mu disitulikiti gyeyava

Museveni agenda kudayo mu disitulikiti gyeyava

Ivan Ssenabulya

January 3rd, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Akutte bendera ya NRM mu kuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga, Yoweri K. Museveni wakuddamu okuwenka akalulu mu distulikiti enondobemu, ngebula mbale okulonda kutuuke.

Kino kiranagiriddwa ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba nga kuno kuliko disitulikiti ye Kisolo, Kasanda, Yumbe ne Maracha ngeno waakusisinkana abakulembeze bekibiina abwerako okubaako empenda zebatema, nga bategekera okulanda kwanga 14 January.

Wabula agambye nti bagenda kusooka kufuna lukusa lwakakiiko kebyokulonda.

Mungeri yeemu, ekibiina kya NRM basiimye eyali pulezidenti wekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye olwakawefube gwataddemu amaanyi okusomesanga abantu ku ssenyiga omukambwe COVID-19.

Ssabawandisi wekibiina Justine Kasule Lumumba agambye nti okuva nabe ono lweyabalukawo Dr. Kiiza Besigye abadde ku mwanjo nnyo okukunga abantu okwekuuma.

Besigye abadde era akozesa omukisa gwonna gwafunye, okusomesa abantu ku mmere gyebatekeddwa okulya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *