Amawulire

Mukomye entalo-Katikkiro

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

katikkiro Mayiga

Katikiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asabye endoolito zebyobufuzi  mu kitongole kya KCCA .

Bwabadde asisisnkanye ba meeya bazidivision za kampala nebakansala abakiika ku lukiiko lwa KCCA , Mayiga ategeezezza nga entalo ezitagwa mpaawo gyezitwaala kibuga okujako okutataganya empeereza eri banakampala.

Mayiga asuubizza okutegeka olukungaana lwabonna bekikwatako mu KCCA okulaba nga entalo zino zokoma.

Ye Lord mayor wa kampala ssalongo Erias Lukwago asuubizza okukolera awamu ne katikiro omujja okusobola okutumbula empeereza eri banakampala.

Team ya lord mayor era eguze ne certificate za Buganda za bukadde 2.