Amawulire

Muhoozi: Tujja kulongoosa enkolagana ne bannamawulire

Muhoozi: Tujja kulongoosa enkolagana ne bannamawulire

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Egye lye gwanga erya UPDF litgezezza nti bagenda kutandika ku ntekateeka, okulongoosa mu bisomsebwa abajaasi, okugattako essomo erikwata ku nkwata yabanauwlire.

Kino kikasiddwa omuddumizi wamagye ge gwanga Gen David Muhoozi oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakoleddwa ku banamawulire olunnaku lwe ggulo e Kololo.

Abebyokwerinda bagudde ku banamwulire ekiyifiyifu, okubagumbulula nebabakuba mizibu, abamu bakyanyiga biwundu.

Eno Robert Kyagulanyi akulembera NUP, yabadde agenze kuloopa kunsonga yekiwamba abantu naddala abwagizi be abali mu 240, abazze babuzibwawo.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyamagye e Mbuya, Gen Muhoozi akirizza nti essomo lino babadde balijagajalir, naye bagenda kukikolako.

Muhoozi yetonze wabula nasaba ne bannamawulire okwambalanga ebibawula ku balala.

Muhoozi asubizza nti abajaasi abakubye banamwulire bagenda kubonerezebwa, era nasubiza n’okusasula ebimu ku bisale bye ddwaliro eri bannamawulire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *