Amawulire

Mugende mpola

Ali Mivule

March 25th, 2013

No comments

 

Mubajje

Mufti wa Uganda sheikh shaban Mubajje asabye ababaka ba parliament bagende mpola ku tteeka erirungamya abafumbo erya  marriage and divorce bill.

Mubajje agamba nti etteeka lino likyalimu ebirumira bingi ebisaana okusooka okugonjoolwa.

Mubajje okusaba kuno akukoledde Kamuli mu kulayiza district Kaddi omujja Ismail Kazibwe.

Mubajje era asinzidde wano n’asaba abasiraamu mu district ye Kamuli okukolera obumu wamu nokwegatta.

Ye ssentebe wa district ye Kamuli omukyala Salaam Musumba asinzidde ku mukolo gw’egumu n’akalatira abasajja okukoma okutulugunya abakyala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *