Amawulire

Mu Paaka ya Namayiba sibakwongeza bisale

Mu Paaka ya Namayiba sibakwongeza bisale

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Prossy Kisakye

Abakulembeze ba paaka ya Namayiba baganye okwongeza ebisale byentambula wakati mu kusaasira abazadde ababadde bamaze okusasula ebisale bya masomero ate abaana ne batasoma

Pulezidenti yaggadde entambula eyolukale ne yobwannanyini okusuka disitulikiti wabula nakkiriza, abentambula eyolukale okusigala nga bakola okutuusa nga 10th june okusobozesa abayizi okudda ewaabwe.

Kati aba baasi ne taxi mu paaka ezimu balinyisiza dda ebisale bye ntambula nga bagamba nti amafuta gali waggulu songa bwebagenda mu byalo tebadda na basabaze.

Wabula mu kwogerako ne radio eno omu kubakulembeze mu paaka ya Namayiba Muhammed Ssempijja agambye nti sikya bwenkanya okwongeza ebisale mu kadde kano.

Mungeri yemu bbo abakulembeze ba basuubuzi abakakalabiza emirimu gyabwe mu bizimbe bya akeedi wansi wékibiina kyabwe ki KAAFO baweze okukola ebikwekweto ku banabwe abanalemererwa okuteeka munkola ebiragiro mu kutangira ekirwadde okusaasana.

okusinzira ku mwogezi we kibiina kino Muzamil Kwebiha,bakukakibwa okuggala amadduka gabwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *