Amawulire

Mpuuga asabye Nabbanja okunonyereza kunsimbi za Basomesa

Mpuuga asabye Nabbanja okunonyereza kunsimbi za Basomesa

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2021

No comments

Bya Malik Fahad,

Akulira oludda oluvuganya gavt mu palamenti era nga ye mubaka akikirira Nyendo -Mukungwe Constituency, asabye ssabaminisita okunonyereza kunsimbi ezatekebwawo gavt okuyambako abasomesa mu kiseera ekyomuggalo.

Mathias Mpuga Nsamba, agamba nti waliwo ebibuuzo bingi kunsimbi obuwumbi 22 ezaali ezokuyambako abasomesa mu masomero gobwannanyini oluvanyuma lwa pulezidenti okuggala amasomero.

Mpuuga agamba nti ssabaminita Nabbanja alina okuvaayo abuulire eggwanga ensimbi zino gyezalaga.

Mungeri yemu anenyeza gavt okuziyiza abantu ssekinoomu abagala okudukirira abali mu bwetaavu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *