Amawulire

Minista Kibuule yekubye endobo

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

minister Kibuule

Minista akola ku nsonga z’abavubuka, Ronald Kibuule yekubye endobo.

Ono kati ate yegaanye ebigambo byeyayogedde nti abakyala abambala enkunamyo bebaviirako okubakaka omukwano.

Ono agambye nti alina abaana abawala, nyina kko n’emikwnao gy’abakyala nga tasobola kuwagira buliisa maanyi

Ono agambye nti abakoze amawulire agamusibako ebigambo bino bagaala kuttattana linnya lye

Ono agambye nti obuliisa maanyi musango ogwanaggomola era nga tayinza kuguwagira.

Ebigambo bya kibuule mu palamenti bikontana n’ebyo byeyayogeredde ku radio Yaffe ey’oluzungu kw’ayogeredde ku makya ga leero.

Kibuule ayogedde mu lufuutifuuti agambye nti yali yasaba  dda ku senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura nti abakyala abakabasanyizbwa nga bali u nkunamyo nabo baggulweeko emisango.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *