Amawulire

Minisitule erabudde ku bafere

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga kiraze okutya, kungeri omuze gw’okujingirira ebiwandiiko gye gugenda gweyongera.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ku ministry ey’ensonga z’omunda mu ggwanga, akulira ekitongole kya Immigration Maj Gen Apollo Kasiita agambye nti tebalina bantu yadde ebitongole bye bakolagana nabyo, kalenga abantu basaanye okwewala abafere.

Alabudde abantu okwegendereza enyo abantu abenonyeza ebyabwe ate bafube okulaba nti ebiwandiiko byabwe babiyisa mu makubo amatuufu.