Amawulire
Mbabazi afunye omubaka asoose owa NRM
Omubaka we Kween Chamaswet Abdil Fadhil Kosi alangiridde mu butongole nga bw’agenda okuwagira naye Mbabazi.
Ono ye Mubaka wa NRM asoose okulangirira obuwagizi bwe eri Mbabazi
Chamaswet nga munna NRM lukulwe y’omu ku bantu 20 abalondeddwa okuwerekera Mbaabzi mu kusunsulibwa mu kisaawe e Namboole olunaku lw’enkya.
Chamaswet agamba Mbabazi gwebatunulidde okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga.