Amawulire

Mayiga akubiriza abakulembeze abakalondebwa okukolera abantu

Mayiga akubiriza abakulembeze abakalondebwa okukolera abantu

Ivan Ssenabulya

February 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze abalondedwa mu bifo ebyenjawulo okwetegekera okuwereza abantu ate bafube n’okutabagana naabo be bawangudde basobole okukolera ebitundu byabwe.

Katikkiro bino abyogedde asisinkanyemu abakulembeze abalondedwa okukulembera ebendobendo lye Buddu, bwebabadde bagenyiwaddeko e Mbuga okwanjula obukulu bwe batuseeko mu kulonda okuwedde.

Mungeri yeemu Katikkiro asabye abakulembeze bano obutekiriranya kunsonga za Buganda nga bonna basinzira mu bifo bye balondedwamu.

Meeya w’ekibuga Masaka, Namayanja Florence, agambye nti balina okusomozebwa nti mu kiseera kino olukiiko olugenda okuddukanya ekibuga kino tebalina office mwebagenda kukakalabiriza mirimu gyabwe.

Mathias Mpuuga omubaka omugya owa Nyendo Mukungwe agambye nti balina okusomozebwa olw’ebitundu ebyalekebwa wabweru w’ekibuga Masaka, kuba bigenda kusanga okusomozebwa okweyimirizawo.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *