Amawulire

Makerere nate eyongezaayo amattikira

Makerere nate eyongezaayo amattikira

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ettendekero ekkulu mu gwanga, Makerere University bongezaayo amatytikira agomulundi ogwe 71 agabadde gagenda okuberawo mu May, okusooka okuleka omukolo gwokulayiza omukulembeze we gwanga guyite.

Guno gwemuylundi ogwokubiri, nga Makerere bongezaayo amattikira gano.

Bano baali balangiridde amattikira okuberawo mu March wakati wa 16 ne 19 wabula nebongezaayo mu May wakati wa 10 ne 14 kubanga ebigezo byabayizi byali tebinategekebwa.

Wabula bwabadde ayogerako naffe, amyuka ssenkulu we Makerere Prof Barnabas Nawangwe agambye nti bazudde ngamattikira tegajja kusoboka mu biseera ebyo, gajja kukubagana nemikolo gyokulayiza omukulembeze we gwanga.

Kati gajulidde gakutandika nga 17 May, ngabayizi abali mu mutwalo 1mu 2,000 bebagenda okuttikirwa, mu nkola eyenjawulo eya virtual okwewala aokubatuuza awamu, olwekirwadde obutesaaba ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *