Amawulire

Makerere eggulawo nga 7 September

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

MUK

Ettendekero ekkulu e Makerere liggulwaawo nga musanvu omwezi ogujja

Kino kituukiddwa mu Lukiiko olwetabiddwaako abakulira akakiiko akatwala ettendekero olw’eggulo lwa leero.

Kino nno kiddiridde abasomesa okutuuka ku kukkaanya okuddamu okukola oluvanyuma lwa ssabiiti namba nga beediimye.

Abasomesa bano kino bakikoze oluvanyuma lw’ettendekero okubongera ku kasente

Wabula abasomesa bano bagamba nti terunaggwa bakusigala nga basaba bongezebwe omusaala

Abakulira Mohammed Kiggundu agamba nti mu nkyukakyuka ezakoleddwa, ba kakensa ababadde bafuna obukadde busatu mu emitwaalo ana mu munaana kati bakufuna obukadde butaano mu emitwalo 90.

BBo abasomesa ababadde bafuna obukadde busatu mu amitwaalo 36 bakufuna obukadde butaano mu emitwalo 71

Kiggundu era agamba nti n’ensimbi zaabwe zebabanja ez’omwezi ogw’omusanvu ne munaana zakusasulwa mu saabiiti mukaaga ezisooka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *