Amawulire

Lwaki Bukenya tafuna kasiimo-palamenti

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Bukenya

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapresidenti batadde minisitule y’ensonga z’obwapulezidenti enyonyole lwaaki n’okutuusa kati eyali omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Baalibaseka Bukenya tanafuna kasiimo ke nga eyali omukiozi wa gavumenti.

Omwaka oguwudde Bukenya yekubira enduulu nga bukyamga asuulibwa ku bw’omumyuuka womukulembeze w’eggwanga bwataafuna yadde akasiimo konna nga amateeka bwegalaigira.

Omubaka wa Aruu County, Odonga Otto agamba kino ssikyabwenkanya nga era abaaliko abakulembeze basanye basibwemu ekitiibwa.