Amawulire

Lukwago awera- gavumenti eyimirizza okumuwandiisa

Lukwago awera- gavumenti eyimirizza okumuwandiisa

Ali Mivule

November 11th, 2015

No comments

File Photo: Lukwago na ba Dp

File Photo: Lukwago na ba Dp

Abagaala ekifo ky’obwa loodimeeya bakulindako ddala.

Kati akakiiko akakola ku by’okulonda kongezezzaayo eby’okuwandiisa abo abagaala ekifo kino.

Okuwandiisa bano kubadde kwakubaawo ssabbiiti ejja okuva nga 16 kyokka nga ssi bwegugenda okuba

Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti bakutegeka okulonda oluvanyuma lw’okufuna ebiragiro okuva eri minisita wa kampala ku mateeka agatwala okulondebwa kwa loodimeeya.

Kino kizze nga gavumenti yakanja etteeka mu palamenti erigenda okujjawo okulonda loodimeeya , nga kati ba kansala abalondebwa beebanelondamu loodimeeya.

Kiggundu wabula agambye nti okuwandiisa abesimbyeewo ku bifo ebirala kwakugenda mu maaso.

Bino bizze nga Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago ky’ajje awera nga bw’atajja kuggwaamu manyi.

Lukwago abadde alangiridde nti wakuwandiisibwa ku bbalaza ya ssabbiiti ejja kyokka nga kati tekisoboka

Lukwago agambye nti eky’okujjawo okulonda loodimeeya kiraga obutiitiiizi gavumenti bw’erina gy’ali ne demokulasita kyokka nga bino byonna bibawa maanyi kusaba nkyukakyuka.