Amawulire

Loodimeeya Lukwago azize olukiiko lwa Bbalaza

Ali Mivule

November 23rd, 2013

No comments

Lukwgao before tribunal

Loodimeeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bw’atagenda kukkiriza kwetaba mu lukiiko olwayitiddwa ku lunaku lwa bbalaza

Ng’ayogerera ku kitanda mu ddwaliro lya Nsambya gen Clinic, Lukwgao agambye nti olukiiko lwayitiddwa kupapiriza kulemesa binaava mu kooti ekintu ekikyaamu.

Lukwago abadde alina okulabikako mu lukiiko luno okwewozaako ku byafulumira mu alipoota eyakolebwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe ng’emuvunaanina okulemererwa emirimu gye

Agamba nti bbo bakubeera kooti okuwakanya byonna beigenda mu maaso.

Lukwago yaddusiddwa mu palamenti olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okulinnya pressure.

Ono alumizibwa mu kifuba n’okulumwa omusujja kyokka ng’omusawo amujjanjaba Ben Mukwaya agamba nti ono ajja akuba ku matu.