Amawulire

Loodi Meeya atadde gavt kunninga ereete alipoota ku bwegugungo obwaliwo

Loodi Meeya atadde gavt kunninga ereete alipoota ku bwegugungo obwaliwo

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago atadde gavumenti kunninga okuvaayo ne alipoota ekwata ku bwegugungo obwali mu ggwanga mu mwezi gwe 11 Bobi wine bweyali atereddwa mu nkomyo.

Obwegugungo obwaliwo ngennaku zomwezi November 18th ne 19th oluvanyuma lwókukwatibwa kwa senkagale wékibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi, bweyali agenze mu disitulikiti eyé Luuka okuwenja akalulu zavaako abantu abasoba mu 50 okulusulamu akaba

Okuva olwo abenganda za bagenzi nabakosebwa bazze basaba gavt baweebwe obwenkanya newankubadde tewali kyali kikoledwa.

Bwabadde ayogerera ku mukutu gwa TV ogumu mu ggwanga, Lukwago agambye nti gavt erina okutwala obuvunanyizibwa ku buli muntu eyakosebwa basobole okufuna obwenkanya

Era alaze obwetaavu eggwanga okudda kunfuga ey’mateeka ngékoma ku basirikale baayo balekere awo okutyobola eddembe lyobuntu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *