Amawulire

Kyagulanyi agenda kuloopa ew’omuddumizi w’amagye

Kyagulanyi agenda kuloopa ew’omuddumizi w’amagye

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ategezezza nga bwagenda okuloopa ew’omuddumizi wamagye ge gwanga ne minisitule yebyokwerinda ekiwamba bantu, naddala abwagizi be abatamanyikiddwako mayitire.

Olunnaku lwe ggulo Bobi Wine, yakwtaiddwa ne banne bwebakulembeera ekibiina bwebabadde bekalakaasa mu masekati gekibuga ku nsonga yeemu.

Kati bwabadde ayogera ne bannamawulire olwaleero, Bobi Wine alabudde nti oluvanyuma lwabebyokwerinda okulemererwa okwanukula ku kusaba bayimbule abantu baabwe, wano webajja okusinziira okwekunga mu bungi okweyiwa ku nguudo bekalakaase mu mirembe

Bobi Wine era asabye bannaUganda bonna, awatali njawulo mu bibiina byabufuzi okuvaayo okuvumirira embeera eri mu gwanga eyokuwamba abantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *