Amawulire

Kooti zigaddewo okujjukira Ben Kiwanuka

Kooti zigaddewo okujjukira Ben Kiwanuka

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2019

No comments

Bya Ruth Andrew

Kooti zamateeka zonna olwaleero zigaddewo abantu basobole okwetaba mu musomo gwokujjukira eyali Ssabalamuzi we gwanga Benedicto Kagimu Kiwanuka ogugenda okubeera ku kooti enkulu mu Kampala.

Omuwandiisi wa koosi omukulu Esta Nambayo ayisizza ekiwandiisko ekiraga nga Ssabalamuzi Bart Katureebe, bwakirizza abakozi ba kooti bonna olwaleero obutakola.

Omugenzi Benedicto Kiwanuka yawambibwa abajaasi ba Idi Amin mu mwaka gwa 1972, okuva ku kooti enkulu mu Kampala nokutuusa olwaleero tamanayikiddwako mafiire.

Kati aba famile wamu nabakungu mu gavumenti bangi basubirwa okwetaba mu mausomo guno.

Omusomo guno gwalanagirirwa omwaka oguwedde, nga gwakubangawo nga 21 mu Sebiuemba wa buli mwaka.