Amawulire

Kooti y’amagye eyimbudde Col. Nduhura Atwooki

Kooti y’amagye eyimbudde Col. Nduhura Atwooki

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali akulira ebyobukessi mu poliisi Col. Nduhura Atwooki ddaaki, awereddwa okweyimirirwa, oluvanyuma lwemyezi 7 ngagaliddwa amagye ge gwanga. 

Col. Nduhura avunanibwa wamu neyali Ssabapolisi we gwanga Gen. Kale Kayihura, eyali omudumizi wa Flying Squad Herbert Muhangi, eyali addumira SIU Nixon Agasirwe nabalala.

Bano bavunanibwa okwekobaana okufulumya emmundu, okuziwa eri abanatu babulijjo, ate nokuwamba banansi ba Rwanda okubazaawyo okwabwe.

Kati olwaleero ssentebbe wa kooti yamagye, etuula e Makindye Lt Gen Andrew Gutti, ammuwadde owkeyimirrwa, nga yesigamye ku bbanga lyamaze mu magye ge wganga, ngawererza nayenga talina muzsango gwonna nti ggugno, ogwali gumuvuaniddwako.

Ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 10, ezitabadde za buliwo, ngalagiddwa okweyanjula eri kooti omulundu gumu mu mwezi, buli lunnaku olusooka mu wiiki.

Kati era akaligiddwa obutaddamu kutambula, okusukka district ye Kampala ne Wakiso, nga tafunye lukusa lwa kooti. 

Oludda oluwaabi lugamba nti emisango baajizza mu 2012 ne 2018, bwebawamba abany-Rwanda abanoonyi bobubudamu Joel Mutabazi, Jackson Kalemera ne Innocent Kalisa.