Amawulire

Kooti eragidde gavumenti ereete omulambo gwo’mumerica

Kooti eragidde gavumenti ereete omulambo gwo’mumerica

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala, Musa Ssekaana alagidde abebyokwerinda, awatali kulemererwa okuleeta omulambo gwa munnaanis we’gwanga lya America Guy Milton Smith eyabula.

Omulamuzi alagidde nti batekeddwa okukola kino nga 4 May 2021.

Kino kyadiridde Ssabawolereza wa gavumenti okulemererwa okunyonyola ku mayitire gomusajja ono, songa aba famile ye balumiriza nti yatwalibwa abebyokwerinda.

Aba famile nga bakulembeddwamu mukyala we Sharon Tusiime nabaana babiri okuli owemyaka 6 ne 11 bagamba nti bamutwalra mu mmotoka kika kya Drone, okuva e Kitebutura mu Njara bwezaali ennaku zomwezi 21 March 2021.

Bagamba nti okuyita mu buyambi bwekitebbe kya America mu Uganda, bakitegerako nti omuntu waabwe agaliddwa ku kitebbe kya SIU e Kireka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *